Второй государственный язык ЛНР
May. 12th, 2014 10:41 pmEkibiina kyaffe kirimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo era aboogera ennimi ez’enjawulo, kyokka tulina bingi ebitugatta. Ekisinga okutugatta kwe kuba nti ffenna twagala okugulumiza Yakuwa, Katonda ow’amazima era Omutonzi w’ebintu byonna. Tufuba nnyo okukoppa Yesu Kristo era twenyumiriza nnyo okubeera Abakristaayo. Buli omu ku ffe awaayo ebiseera okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Bayibuli ne ku Bwakabaka bwa Katonda. Olw’okuba twogera ku Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe, tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Re: Mwenna Muli ba Luganda
Date: 2014-12-23 01:48 am (UTC)Weebuuze:
Naye ddala kino Katonda kye yanjagaliza awamu n’abantu bonna?
Nnyinza kuggya wa obuyambi okusobola okwaŋŋanga ebizibu bye nnina?
Waliwo essuubi lyonna nti ekiseera kirituuka ne tufuna emirembe ku nsi?
Baibuli eddamu ebibuuzo bino mu ngeri ematiza.